Abakozi b’akakiiko k’ebyokulonda e Wakiso babanguddwa
Abakozi bakakiiko k'ebyokulonda abagenda okulondooal ebyokulonda mu kalulu akabinda binda bakubiriziddwa okwewala okwenyigira mu byo'bufuzi n'okwekubiira nga bakola emirimu gyabweBino bibadde mu kubangula abantu abawandiisiddwa akakiiko okukola mu biseera byakalulu Bino webiggyidde ng'enteekateeka y'okwetegereza n'okutereeza enkalala z'abalonzi zisembedde nga zaakubaawo wakati wa nga 20 omwezi guno ne 10 omwezi gw'okubiri.