Besigye agamba omulamwa gw'ameefuga twaguvaako dda
Dr. Kizza Besigye,ono nga yavuganyaako okukulembera eggwanga lino, agamba nti gavumenti ekyalemereddwa okutuukiiriza ensonga enkulu ezaatanula bannaUganda okulwanirira obwetwaze bw'eggwanga okuva mu mikono gy'abafuzi b'amatwale.Mu bubaka bwe nga Uganda Ejaguza Emyaka 62 egy'obwetwaze olunaku olwaleero, Besigye agamba nti okudobonkana mu byenjigiriza, eby'obulamu wamu n'eggwanga okuba mu katuubagiro k'amabanja kitattana ekitiibwa ky'ameefuga.