Ddala gav't yatwerabira? Ba Ndorobo abaagobwa mu Elgon beekubidde enduulu
Disitulikiti y’e Bukwo erimu abantu abamaze emyaka 25 nga baabulwa gye badda oluvannyuma lwa Gavumenti okubagoba mu maka gye baali bawangaalira mu bitundu by’omu nsozi za Elgon. Kyaddirira gavumenti okulangirira ebitundu by’omu nsonzi za Elgon okuba ekifo ekitongole ekikuumirwamu ebisolo n’obutonde wabula n'esuubiza okubafunira webateeka. Abantu bano abayitibwa Bandorobo bwe baagobwa gye baali babeera tebaaweebwa waakudda era okuva olwo beefuutiika ku yiika emu eyabaweebwa omuzirakisa nga giweze emyaka 25. PATRICK SSENYONDO yatuuseeko mu kitundu kino n’aggyayo okulaajana kw’abantu bano.