E Kamuli baleese etteeka ekkambwe ku kutaasa omwana omuwala
Disitulikiti ye Kamuli nga ekolaganira wamu n'ebibiina byobwannakyeewa ebirwanirira eddembe ly'abaana ebaze ebbago erigenderera okukuuma abaana n'okubatangira obulabe mu li child protection law 2024.Kiddiridde omuwendo gw'abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka okulinnya mu myaka etaano egiyise.