Ebbago ly’omubaka Lumu: Akakiiko k’amateeka aka palamenti katandise okulyekenneenya
Akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka katandise olwaleero okwekenneenya ebbago ly'Omubaka Richard Lumu, erigendereddwa okukuba akalulu kw'akulira oludda oluvuganya mu palamenti. Lumu ono y'asoose mu kakiiko kano okwongera okunnyonnyola ku bigendererwa bye era ng’agamba nti kino kyakutumbula demokulasiya mu palamenti. Wabula akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi agamba nti ebbago lino ligendereddemu kuyuuya yye ng'omuntu kubanga Lumu alina bye yenoonyeza.