EDDEMBE LYA BESIGYE: Ababaka bamukyalidde mu kkomero e Luzira
Ababaka ku kakiiko ka palamenti ak'eddembe lyobuntu leero bakyaliddeko Dr. Kizza Besigye mu kkomera e Luzira, okubaako bye beetegereza ku bigambibwa nti eddembe lye Lirinnyirirwa. Mu lutuula lwa Palamenti olwabaddewo olunaku lw’eggulo waliwo ababaka abategeezezza nga Besigye bwatakkirizibwa kulya mmere gyayagala okusinziira ku bulamu bwe, ekityoboola eddembe lyobuntu.