Emmaali y’omugenzi baluku; eyanoba mu maka ayagala ku gy’ezza
Wabaluseewo olutalo ku by'obugagga by'omujaasi eyafa nga abakazi babiri buli omu alumiriza nti y'atekeeddwa okubivunaanyizibwako.Lieutenant Colonel Richard Baluku, yafa emyaka ebiri emabega, n'aleka omukyala mu maka eyazaala abaana ab'obuwala bokka wabula ng'eyamuzaalira abalenzi baayawukana dda.Oluvannyuma lw'okufa, mukazi mujja eyava mu maka ate yakomyewo nga kigambibwa nti ayagala buli kimu akyeddize.