Kaliisoliiso wa gav't w'akutunula mu bitakwatagana mu alipoota ya UBOS
Tukitegedde nti kalisooliso wa gavumenti Beti Kamya wakutunula mu nvuvuumo eziriwo n'ebibuuzo ku byava mu kubala abantu okwongera okumanya lwaki byalimu ensobi nyingi.Tuzze tukulaga ensobi ezaakolebwa ab'ekitongole ky'ebibalo ki UBOS nebatuuka n'okuwanukula alipoota yaabwe ku mutimbagano okusobola okuddamu okubitereeza.Kalisooliso agamba nti tebayinza kukkirizza mulimu gwa kibogwe nga guno, ate ng'eggwanga lyateekamu ensimbi nnyingi okukakasa nti bannansi babalibwa.