Katikkiro ajjukizza abasajja obuvunaanyizibwa bwe balina mu lutalo lw'okulwanyisa mukenenya
Abasajja bajjukiziddwa obuvunaanyizibwa bwe balina mu lutalo lw'okulwanyisa mukenenya okulaba nga omwaka 2030 wegunaatuukira ng'ekirwadde kino kifumwa bufumwa. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abyogeredde mu kusimbula emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka ensanvu. Mayiga era asabye abaganda okunyweeza omwoyo gwa buganda ogutaffa n'okukola ennyo okuzza Buganda ku ntikko.Omusasi waffe Baker Ssenyonga Mulinde abaddeyo