NEMA eboye ebyumba by’ebbaala ya Liquor Shade e Kamwokya
Wabaddewo Katemba nga ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi ki NEMA babowa emizindaalo gy’ebbaala emanyiddwa nga Liquor Shade Gardens esangibwa mu masangaanzira ge Kamwokya okuliraana nessundiro ly’amafuta erya City Oil.Abaddukanya ebbaala eno beeremye okuggulawo ekiwalirizza aba NEMA okulumenya. Williams Lubuulwa omu ku boogerera ekitongole kino agamba nti bannyini baala eno balangibwa kuwogganya bidongo ebimazeeko abatuuze mu kitundu kino emirembe.