Omulambo gwa Muhammad Ssegirinya gutuusiddwa e Masaka gy’agenda okuziikibwa
Omulambo gw'abadde Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya gutuusiddwa ku biggya bya bajajja be e Butale-Kaddugala mu Kibuga Masaka gyagenda okuziikibwa olunaku lw'enkya.Palamenti yeri mu mitambo gy'okuziika Ssegirinya era nga Kaamisona wa palamenti era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga asabye abavubuka okwewala effujjo mu kuziika kuno.