PLE MU MASAKA CITY: Ab’ebyenjigiriza boogedde ekyagiyambye okusukkuluma
Ab’essomero lya KY Primary School erisangibwa mu kibuga Masaka eryansinze mu ggwanga lyonna mu byavudde mu bigezo bya PLE bagamba obuwanguzi buno bamaze emyaka 25 nga babukolerera. Bagamba, batuukirizza ekirooto ky’omutandisi waalyo Kironde Yusuf kati omugenzi eyali ayaayaanira okuliyitimusa mu ggwanga lyonna.