Poliisi eyigga Ssentebe wa LC 1 mu Disitulikiti y'e Namutumba lwa kwokya mwana mazzi agookya
Waliwo ssentebe wa LC 1 mu Disitulikiti y'e Namutumba aliira ku nsiko oluvannyuma lw'okuyiira omwana ow'emyaka etaano amazzi agookya olw'ensonga ezitanategeerekeka.Taata w'omwana eyayokeddwa, alumiriza nti ssentebe ono yasooka kuyita mwana ono amuyambeko mu nnimiro ng'amusuubizza okumuwa ssente, kyokka oluvanyuma n'amuyiira amazzi agookya bweyali agezaako okumasaba ensimbi.