Waliwo abatuuze b’e Buziga abeekubidde enduulu lwa kikomera ky’omuyindi
Waliwo batuuze mu zooni ye Kyamula e buzinga mu ggombolola y'e Makindye abavuddeyo ne beekubira enduulu kikomera ky'omuyindi ekibamazeeko emirembe.Ekikomera kino kyakagwira Abatuuze emirundi egiwera ekitadde obulamu bwabwe mu matiggaBagamba bagezezaako okwekubira enduulu mu bakwatibvwako kyokka tebafunanga kuyambibwa kwonna.Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabiine agamba nti bagenda kusitukiramu okulaba nga boogera n'omuyindi singa agaana nga bakukozesa amateeka okumukangavvula.