Abaagalana babiri e Mukono basangiddwa mu nyumba nga bafu
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nabulega - Mbalala mu gombolola y’e Nama e Mukono abafumbo bwe basangidwa mu kisenge kyabwe nga bafu. Kigambibwa nti gyebuvuddeko bano baalina obutakkaanya ekyatuusa n’omukyala okunoba kyokka nga bwebaasisinkanye ku ssomero okulaba abaana baabwe nebakkiriziganya badding’ane ekyaddiridde bano kusangibwa nga bafu.