Abawagizi ba Man U e Mbarara badduukiridde abantu abawangaalira mu bifo by’omugotteko
Abawagizi b’omupiira gw’e Bungereza aba Ttiimu ya Manchester United e Mbarara, mukaweefube w’okulwanyisa akawuka ka mukenenya, bakwataganye nebannakyewa ab’enjawulo okuddukirira abantu abawangaalira mu bifo by’omugotteko mu kibuga ky’e Mbarara. Bano babawadde ebintu eby’enjawulo omuli Pad, emmere nga kwotadde n’obupiira bubayambe okwekuuma.