Poliisi ategeezeza nga bw'ettukizza ebikwekweeto byayo okufuunza abamenyi b’amateeka
Nga ennaku enkulu zisembera poliisi ategeezeza nga bw'ettukizza ebikwekweeto nyayo okufuunza abamenyi b’amateeka. Mu bikwekweeto bino, abantu abasukka mu 160 bebaakakwatibwa mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, abaakwatiddwa bonna baasangiddwa n’ebiragalalagala n’ebintu ebirala kwosa ebyuma ebikozesebwa okumenya amayumba.