Abazadde balabuddwa okwegendereza abantu ab’emitima emibi ng'abaana babwe batandika oluwummula
Mubiseera bino nga abayizi batandise okuwummula, abazadde balabuddwa okwegendereza abantu ab’emitima emibi abayinza okubatusaako ebikolwa eby'ekko. Amagezi gano gabaweereddwa omubaka wa Mityana South Richard Lumu bwabadde ayogerako eri abazadde b’abaana b’essomero li Joy Primary School erisangibwa e Vvunamba mu town council y’e Sekanyonyi e Mityana. Mungeri yemu abazadde b'essomero erya Wilton Primary school erisangibwa mu kibuga eky'e Mityana basabiddwa okuwa abaana babwe eby’okukola mu biseera eby’oluwummula kibasozese okubakuuma baleme kutaayaya.