Poliisi y’e Bweyogerere ekutte omusajja kubigambibwa nti yasse muganziwe
Poliisi y’e Bweyogerere eriko omusajja gw’ekutte kubigambibwa nti yasse muganziwe oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya. Kigambibwa nti omusajja ono yagudde mukyala we mu bulago n’amutuga okutuusa lweyamusse. Bino byabade Kireka mu gombolola y’e Bweyogerere mu minisipaali y’e Kira.