Okuwulira omusango gwa Rt. Col. Kiiza Besigye ne Obeid Lutale kwongezeddwayo
Ssentebe wa kkooti y’amagye e Makindye Brigadier General Robert Freeman Mugabe ayongezaayo okuwulira emisango egyivunaanibwa Rt. Col. Kiiza Besigye ne Obeid Lutale okutuusa nga 10 Dec. omwaka guno. Kino kivudde ku ludda oluwawabirwa okusaba akadde abakulira Martha Karua afune ebaluwa emukkiriza okukolera mu Uganda okuva mu Law Council. Besigye abadde ayimbudde bapuliida 35 okubeera mu bitambo gy’emisango egibavunanibwa.