Abavuzi ba Loole e Mbarara bavudde mu mbeera lwa misolo egyitategeerekeka
Abavuzi ba Loole mu kibuga Mbarara ab’egattira mu kibiina kyabwe ki Ankole United Truck Owners and Drivers Cooperative Society Limited bavudde mu mbeera nebatabukira abakulembeze mu Kibuga kyabwe olw’okubaliisa akakanja. Bano bagamba bagyibwako emisolo egyitategeerekeka kyoka nga ne tender eddukanya omulimu gwabwe yabagyibwako n’ewebwa abantu abalala. Kyebakoze kwekuleeta emmotoka zaabwe zonna nebaziteeka ku wofiisi za Mbarara City South Division okulaga obutali bumativu bwabwe.