Kibuyaga asudde ekkanisa abakristaayo gy’ebabadde bamaze emyaka 10 nga bazimba
Abakristaayo b’ekanisa ya St. Stevens Church of Uganda ey’obusumba bw’e Rwampanga mu disitulikiti y’e Nakasongola gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw’a kibuyaga okulindiggula ekanisa yaabwe ku ddimwa gy’ebabadde bamaze emyaka 10 nga bagizimba. Bano kati bagamba tebalina wakutenderereza mutonzi era basaba abazira kisa okuli n’omukulembeze w’eggwanga okubadduukirira.