Abasawo mu Wakiso bali ku bunkenke olw'ekirwadde kya kawaali w’enkima oba Mpox okweyongera
Abasawo mu Wakiso bali ku bunkenke olw'ekirwadde kya kawaali w’enkima oba Mpox okweyongera nga wetwogerera abantu abasoba mu 120 bebakakwatibwa ekirwadde kino mu Wakiso ate nga abantu 2 tebalutonze. Okusinziira ku b'eby’obulamu, obulwadde buno businze kwegiriisiza mu baana b'amasomero nga okuwummula kwakwongera okubusaasanya. Mukiseera kino batunuulidde kyakuteekawo kifo kyetongodde ku ddwaliro ly’e Wakiso okukuumirawo abakwatiddwa obulwadde buno.