Abasoma obwa nurse n'obuzaalisa; omuwendo gwabwe gweyongera buli lukya
Okusomooza kw’ebbula ly’abasawo abazaalisa kwandifuuka olufumo oluvanyuma lw’abayizi abasoma obuzaalisa okweyongera. Okusinziira ku kitongole ekitegeka ebigezo by’abazaalisa ki Uganda Nurses and Midwives Examinations Board [UNMEB] omuwendo gw’abano gweyongera buli mwaka nga n’abayizi ab’obulenzi nabo kati batandise okubyetanira. Olwaleero abasoma obwa nurse n’okuzaalisa lwebatandise okukola ebigezo byabwe okwetoolola eggwanga lyonna.