Okuwanyisiganya ebisongovu mu lutuula lwa Palamenti olw'e tteeka ly'omubaka Lumu
Wabaddewo okuwanyisiganya ebisongovu mu lutuula lwa Palamenti olwaleero, omubaka wa Mityana County Richard Lumu, bwabadde ayanjulira ebbago lyayagala eriyisibwe ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya okwerondera abakulira mu palamenti oba muyite leader of opposition. Okusinziira ku babaka, Palamenti eraze kyekubiira bweyeerema okussa ekiteeso ky’okugoba ba kamisona ku birina okuteesebwako n’okunoonyereza ku buli bw’enguzi obuli mu Palamenti ku birina okuteekebwako kyoka kkyo ekya Lumu nekiteekebwako mu bwangu.