Abaddukanya kampuni y’ennyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines batandise okukanikira ennyonyi zaabwe oluvannyuma lw’okubangula ba yinginiya baayo nga bannayuganda mu kukola omulimu guno. Olunaku lw’eggulo bayinginiya bano baasobodde okukyusa yingini y’emu ku nnyonyi za kkampuni eno eyekika kya Bombarider CRJ 900, eyabadde emazeeyo engendo zaayo. Akulira kkampuni eno Jenifer Bamuturaki agamba nti ekyokekanikira ennyonyi zaayo kyakuyamba okukendeeza ku nsimbi ze babadde basaasaanyiza kumu mulimu guno ebweru w’eggwanga.