Ababudaabuda abali obubi basabye gav’t ekole amateeka agalungamya omulimu gwabwe
Bannakyeewa ababudaabuda abantu ababa bakoseddwa endwadde n’ebintu ebirala , abali mu bitundu oba bayite Community Care givers bavuddeyo nebawanjagalira gavumenti ebage amateeka agalungamya emirimu gyabwe ssaako okugereka ensako enaabasobozeza okukola emirimu gyabwe obulungi n’okwekulakulanya. Bano nga bayita mukibiina kyabwe ekya Uganda Community Caregivers’ Alliance, bagamba basaale nnyo mukubudaabuda abantu ababa bakoseddwa mu bibamba oba abalwadde abatalina abafaako.