Abakulisitaayo be Rwampanga basobeddwa lwa kibuyaga asudde ekkanisa yaabwe
Abakristaayo b’ekanisa ya St. Stevens Church of Uganda ey’obusumba bw’e Rwampanga mu district y’e Nakasongola gebakaaba gebakomba oluvanyuma lw’a kibuyaga okulindiggula ekanisa yaabwe ku ddimwa gy’ebabadde bamaze emyaka 10 nga bazimba. Bano kati bagamba nti tebalina wakutenderereza mutonzi era basaba abazira kissa okuli n’omukulembeze w’eggwanga okubaddukirira.