Amagye gayiiriddwa e Bulambuli okuyambako abatuuze abayigulukuka kw’ettaka
Tukitegedde nti amagye nga gayambibwako abatuuze be Bulambuli bakazuula emirambo gya banaabwe 28 ababuutikirwa etteka ssabiiti ewedde mu disitulikiti ewedde mu kitundu kino. Emirambo gyizuuliddwa mu gombolola ye Buluganya ewali ebyalo 4 ebyakosebwa, kyoka nakaakano emirambo 98 teginakubwako kya mulubaale. Kyoka ku tulakita ebbiri ezaweerezebwa okuyiikula ettaka mu kitundu kino emu yokka yeyatuuka mu kitundu ekyakosebwa , endala yalemwa olwembeera yobudde.