Constantine Rupiny omusumba w’e Nebbi omulonde ayogedde by’atandikirako
Omusumba omulonde ow'essaza lya Kelezia erye Nebbi Constantine Rupiny yeeweze okulwanyisa obwavu obuli mu kitundu kino, okusobozesa abakristu okusitula embeera zaabwe. Rupiny yalondebwa ssabiiti ewedde omutukuvu Paapa okulamula essaza lino, oluvannyuma lw'omusumba eyalirimu Raphael Wokorach ate okulondebwa okufuuka ssaabasumba w'essaza ekkulu ery'e Gulu.Ono era agamba waakugatta abantu be awatali kubaawuamu mu ndowooza zaabwe ez'ebyobufuzi.