Ekifo kya Julius Nyerere Peace Centre kigguddwawo
Amawanga ga East africa gasabiddwa okukulembeza emirembe n’okulafubanira East Africa eyaawamu ekyali kitandikiddwako eyaliko Pulezidenti w’eggwanga lya Tanzania Julius Kambalage Nyerere. Ssaabawandiisi w’omugago gwa East Africa Dr.Peter Mathuki y’awadde okusaba kuno mu kutongoza ekifo awanaatendekerwanga obukulembeze obutumbula emirembe n’enkola ya demokulasiya ki Nyerere Centre for Peace Research. Bino bibadde mu kibuga Arusha mu Ggwanga lya Tanzania.