Enfa y’omusuubuzi Katanga; kkooti eyise mukyalawe ne muwalawe nate
Kkooti e Nakawa eyisizza ebibaluwa ebiragira Molly Katanga ne muwalawe Martha Nkwanzi okulabikako gyeri ku misango egibavunaanibwa nga gyekuusa ku gy’obutemu. Molly alangibwa kwenyigira mu kutta bba Henry Katanga , so nga muwalawe Martha naye kigambibwa nti ebyaliwo yabyenyigiramu.