Kkooti ezzizzaayo Besigye ne Lutale ku alimanda okutuuka wiiki ejja
Kkooti y'amagye e Makindye ezzizzaayo Dr Kizza Besigye ne Obeid Lutale ku alimanda okutuusa nga 10 December, nga kw'olwo lwe bagenda okusomerwa emisango egibavunaanibwa. Kino kiddirirdde munnamateeka wabwe omukulu Martha Karua okulemererwa okufuna ebiwandiiko ebimukkirizza okukolera kuno obwa looya. Oludda oluwawaabirwa lubadde lw'agala kkooti eno eddemu okutuula olunaku lw'enkya nga Karua amazeeyo emitendera gyonna egimuweesa ebiwandiiko wabula ssentebe kino akigaanye nti kubanga balina emisango emirala egy'okukolako ng'oggyeko ogwa Besigye ne munne.