Mukyalawo yafudde atya?; waliwo omusajja poliisi gw’etaddeko obunyogoga
Poliisi mu Kampala eriko omusajja gw'etaddeko obunnyogoga mu kkomera, bw'amala okuwona abannyonnyole engeri mukyala we gye yafuddemu. Omusajja ono nga mutuuze w'omu Kireku e Bweyogerere eyakategeerekekako erya Kiwanuka, yatomeddwa mmotoka ku luguudo oludda e Jinja kyokka abadduukirize olwasazeewo okugenda okutegeeza abantu be, baasanze olujji luggale wabula nga mukyala we kiraga ali mu Ntebe mufu wa jjo.Poliisi eteebereza nti omukulu ono yabadde asse mukazi we, nga naye okwesuula mu motoka yabadde ayagala kwejja mu budde.K'atubifune mu bujjuvu.