Okukuuma ebibira; gav’t etandise okukwatagana n’e kkampuni z’obwannanyini
Oluvanyuma lw’ebibira ebisinga okusanyizibwawo naddala mu myaka gye 70 ne 80, gavumenti yaggulawo kaweefube w’okusimba kko n’okukuuma ebibira. Mu ntekateeka eno mulimu okuleka ebibira ebyali bitemeddwa okuddamu bimere byokka, songa ebirala byali bya kuddamu kusimbwa buto. Kyokka olw’okuba gavumenti teyalina nsimbi wadde obukugu okukola omulimu guno, gavumenti ng’eyita mu ekitongole ki NFA yasalawo okukwatagana ne kampuni z’obwananyini okutandika okusimba ebibira. Leero katulabe engeri ekkubo lino gyeriyambyemu okuzzaawo obutonde bw’ensi.