Okutunda eby’ennyanja e bulaaya, gav’t yaakuyita mu balunzi ssekinoomu
Gavumenti ya kuno etandise okuddamu okuyiiya engeri gy'eddamu okutunda ebyenyanja bya Uganda ku katale k'omugako gwa Bulaaya gu European Union nga yeyambisa abalunzi b'obwannanyini. Okuva omugako guno lwe gwagoba ebyenyanja bya Uganda olw'omutindo omubi, gavumenti egamba nti abadde efiirwa bya nsusso kubanga akatale kano kaali kagazi era nga kavaamu ensimbi eziwera.Minisita omubeezi ow'ebyenfuna Beatrice Akello ali mu kulambula kampuni zino zebaatandise edda okuggyamu sampolo ze'byenyanja nga babiweereza ab'omukago gwa Bulaaya bategeere ngti omutindo gulinnye.