Owa S.1 attiddwa mu bukambwe e Mityana
Abazigu mu kiro ekikeesezza olwaleero bamenye edduuka ne batta omuvubuka abadde alisulamu era ne bakuuliita n’ebyamaguzi ebibaddemu. Bino bibadde ku kyalo Busimbi mu Munisipaali y’e Mityana. Attiddwa abadde muyizi wa siniya esooka abadde y’akawummula nga atandise okutundirako mukuluwe edduuka.