Poliisi enoonyereza ku kabenje akaabaddemu Specioza Kazibwe
Poliisi etandise okunoonyereza ku kabenje ka mmotoka akagudde e wakiso e kayunga akabaddemu n'emmotoka ye yaliko omumyuka w'omukulembeze we ggwanga , Specioza Wandera Kazibwe wabula ng'embeera ye tetiisa. Poliisi era etutegezeza nga bwekyagenda mu maaso n'okunoonya omulambo gwa Emmanuel Wangada abadde omuyimbi mu bandi ya Saxo flames eyafiiridde mu nyanja nalubaale akawungezi k'eggulo, mu bitundu bye GGaba.Wangada yabadde wamu nebbane bwe bayimbira mu bandi eno eryato lyaabwe bwelyatomeraganye ne ddala eryabadde ligezaako okukyuuka.Poliisi erabudde abasaabalira ku mazzi okugondera amateeka agafuga okusaabalira ku nnyanja naddala okwambala obukooti obutangira omuntu okubbira.