Abeesenza mu lutobazi lwe nyanja Bunyonyi balabuddwa
Abatuuze abalirima mu lutobazi lwa Nyombe n’abaliraanye enyanja Bunyonyi mu disitulikiti y’e Kabale baweereddwa sabiiti 3 nga baamuse ebifo bino.
Kino kidiridde ekiragiro kya pulezidenti okutaasa entobazi mu ggwanga.
Abalina ebirime nga obumonde balagiddwa okubukungula.