Okukyala kwa Ssabaminista Robinah Nabbanja e Italy
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja atendereza gavumenti ya Italy n’ekitongole ki AVIS eky’eggwanga lino olw’omulimu ogwetendo gwekikola mu kutendeka abavubuka okulaba nga bafuna obukugu mu mirimu egy’enjawulo okusobola okulwanyisa obwavu mu bannayuganda.
Ssaabaminisita Nabbanja ali ku mirimu emitongole mu kibuga Rimini mu ggwanga lya Italy.