ABAANA ABADDA KU MASOMERO: Abasomesa mu Kampala balabuddwa ku bisiyaga
Ekibiina ekitaba abakulira amasomero ga Primary mu Kampala kiraze obweraliikirivu olw’ebitabo, n’entambi za firimu ezikwekeddwamu obubaka obw’obuseegu bye bagamba nti bikoze kinene okubunyisa omuze ogw’ebisiyaga naddala mu baana abakyali mu masomero.Bano balina ensisinkano gyebabaddemu n’abatwala eby’enjigiriza mu Kampala nebasaba gavumenti ebakwasizeeko okulwanyisa omuze guno.