OKULWANYISA OBUBENJE: Abasawo baagala abavuga mmotoka bakeberebwe
Ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association kisemba nti abagenda okuweebwa ppamiti z’ebidduka ebinene n’ebisaabaza abantu basooke kukeberebwa ate n’abazirina nabo bakeberebwe buli luvannyuma lw’emyezi 6 okukakasa nti embeera y’obulamu bwabwe ebasobozesa okuvuga. Bano baagala ne gavumenti eyongere eddagala n’abakugu abakozesa ebyuma ebyeyambisibwa mu kutaakiriza obulamu bw’abagudde ku bubenje mu malwaliro gaayo kuba batono.