Omwana ow’emyaka 3 asimattuse okusadaakibwa
Poliisi e Kasese eri ku muyiggo gw’omuntu atannaba kutegeerekeka eyabuzeeko katono okutta omwana ow’emyaka 3. Omwana yasangiddwa ku kikomera ky’amaka wabeera mu kitaba ky’omusaayi. Maama w’omwana yabadde amulese ne banne nga agenze ku kanisa olunaku lw’egguno.