Eby’entambula mu Kampala: Poliisi etegeezezza nga bw’eddirizza mu biragiro
Wadde entambula naddala ku nguudo ezitalwa abakungu e Munonyo yabadde esuubirwa okubeera eyakaweerege naddala eri abantu ababulijjo , olw'olukungaana lwa NAM, kino okutwaliza awamu sibwekibadde . Poliisi yali erangiridde nga enguudo ezimu bwezigenda okuteekebwako ekkomo ,wabula kitegeerekese nti kino kyakubeerawo nga waliwo abagenyi abayitawo so si kagenderere. Okusinzira ku poliisi y’ebidduka Oluguudo lwa Kampala - Entebbe Express way lwe luguddo olukulu olutwala abakungu abagenda okwetaba mu lukugungana lw'a mawanga ga nampawengwa oba NAM.